Okusiimba obutiko obuzungu
Obutiko obuzungu bwa tuttumu nnyo ensangi zino n’okusiinga obutiko obwabulijjo! Bw’obugerageranya ku butiko obwabulijjo (champignon mushroom)!, buno obutiko bulina omugaso gumu ogw’amanyi – tegubuzibwabuzibwa na butiko bwa buttwa (Amanita phalloides).
Olw’okusatu 21.9.2011 21:21 | Fulumya mu kyapa | Obutiko
Okusimba emiyembe okuva mu nsigo
Olina okusimba ensigo ezakakungulwa zisobole okuva mu ttaka obulungi. Nnyika ensigo mu mazzi agalina ebugumu lya 20–25 °C okumala essaawa nga 2 –6.
Olw’okusatu 21.9.2011 15:42 | Fulumya mu kyapa | Ebimera ebizungu, Endagiriro ku kusimba ebimera
Omuti gw’olubalama lwa Buyindi (Pongamia pinnata)
Pongamia pinnata
Omuti gw’olubalama lwa buyindi Pongomia pinnata (Amanya amala guyitibwa: Honge, Pongam, Panigrahi) muti gwa bikoola binene nga guwanvuwa mita 15–25, era nga guli mu kika kya Fabaceae. Gugejja wagulu era nga gubeera n’obumuli obutono obuli mu langi enjeru, eyapinka wamu ne kakobe. Gusibuka Buyindi era nga gulimibwa nnyo mu maserengeta ga Asia.
Olw’okusatu 21.9.2011 01:18 | Fulumya mu kyapa | Amazzi n’ebirime eby’omumazzi
Kitengejja w’abayindi (Nelumbo nucifera)
Ekimuli kya Kitengejja w’abayindi
Kitengejja w’abayindi (Nelumbo nucifera) kimera kirungi ekikulira ku mazzi era nga kirina ebikoola ebitengejjera ku mazzi ebya langi eya kippapaali. Ebimuli ebya kakobe bitera kusangibwa ku matabi g’ekimera kino agaviira ddala wansi mu mazzi. Mu diini y’e Kibudda, ekimuli kino kitwalibwa nga kyamuwendo nnyo kubanga kikozesebwa nnyo ku mikolo gy’okusinza. Ekimera kino kyon kiribwa newankubade nga ensigo n’emirandira byebisinga okuliibwa mu bukiika ddyo bw’obuvanyuba bwa semazinga Asia. Kitengejja ono asobola okusimbibwa engeri y’emu nga ekimuli kya liili ekiwunya akawoowo. Si kizibu nnyo okusimba ekimera kino mu mbeza zaffe, omuntu alina kumanya kya kukola kyoka!
Olw’okubiri 20.9.2011 21:13 | Fulumya mu kyapa | Amazzi n’ebirime eby’omumazzi
Okusimba ettungulu ly’ekimuli wamu n’ensigo yakyo
Jjamu ettungulu n’ensigo ebikuweredwa okuyita mu posta okuva mu nsawo yabyo, olwo obireke mu kisikirize okumala ennaku nga 2 oba 3. Oba osobola okusimbirawo wabula olwo oba olina okukikuumira mu kisikirize kireme kugendako musana.
Olw’okutaano 5.8.2011 23:12 | Fulumya mu kyapa | Endagiriro ku kusimba ebimera
Kiki ky’olina okukozesa omuddo ogusayiddwa?
Bw’oba nga oyagala omuddo omulungi ogusayidwa akakeeka, otekwa okusaawa omuddo gwo buli kiseera. Mu kiseera ekyo, omuddo ogusayibwa buli kadde guleeta kasasiro omungi ekiyinza ate okukuwa obuzibu. Abalimi abasinga omuddo gunno bagusuulira wamu ne kasasiro. Kino sikikiririzaamu kubanga abantu babeera bakasukayo nakivundira asinga okubeera ow’ebeeyi!
Olw’okuna 28.7.2011 10:47 | Fulumya mu kyapa | Omuddo
Ngeri ki gy’oyinza okusaawa mu omuddo gwo obulungi?
Kirungi okusaawa omuddo mu ngeri ennungi okusobola okufuuna omuddo omukwafu oguluinga akakeeka.
Olw’okusatu 27.7.2011 17:57 | Fulumya mu kyapa | Omuddo
Okusiimba omuddo omupya
Mu bungeeza ekiseera eky’okusimbamu omuddo omupya oba okusimba omuddo omulala kye kya omwezi gw’okutaano wamu n’ogwa omukaaga. Bw’eba nga enkuba tetonye nnyingi, olwo osobola okugusiimba mu mwezi gw’omusanvu.
Olw’okubiri 26.7.2011 13:25 | Fulumya mu kyapa | Omuddo
Ennima ya Clover ey’ebikoola ebina (Marsilea quadrifolia)
Clover Ey’ebikoola ebina (Marsilea quadrifolia) kimera kya mu mazzi era nga ebikoola byayo birabikira ddala nga zi clover. Gwe bw’oba nga olowooza nti ebikoola by’omu mazzi ne zi clover tebirina kyebifananya, ddamu werowooze! Bino byombi binyonyola enkula y’ebibala ebitali byabulijjo mu bulamu bw’okulima naye nga ate birungi nnyo mu kutiimba.
Olusooka 25.7.2011 15:23 | Fulumya mu kyapa | Amazzi n’ebirime eby’omumazzi
Khasi Pine (Pinus kesiya)
Khasi Pine (Pinus kesiya) ali mu bika bya pine ebiva mu semazinga wa Asia asinga okukula amangu era nga tatera kusangika wabweru wa semazinga ono. Emiti giwanvuwa okutuuka ku mita 30 oba 35 ate nga enduli eyinza okugaziwa n’etuuka ku bunene bwa diameta 1. Buli ttabi lirina obuti 3 era nga buli kamu kawanvuwa okutuuka ku sentimita 15 oba 20. Ebibala by’omuti guno bigejja okuva ku sentimita 5 okutuuka ku 9 era nga ensigo ziri kubunene bwa sentimita 1,2 okutuusa ku 2,5.
Sabiiti 24.7.2011 17:44 | Fulumya mu kyapa | Ebimera ebizungu
Ebifa ku KPR
Gabana okumanya kwo mu kulima ebimera. Wandika ku bulimi, ebimera, ennima y’ebimera, n’ebirala. Era obikube mu Botanix eri mu lulimi lwo! Tutukirire okumanya ebisingawo.
Category: Byona Amazzi n’ebirime eby’omumazzi Ebimera ebizungu Ebinazi Ebiwuka Endagiriro ku kusimba ebimera Obutiko Omuddo