Eterekero ly’amawulire gonna
Wano ojja kufuna amawulire gonna agawandikidwa mu lulimi Oluganda.
Category: Byona Amazzi n’ebirime eby’omumazzi Ebimera ebizungu Ebinazi Ebiwuka Endagiriro ku kusimba ebimera Obutiko Omuddo
Ebiwandiiko okuv eri omuwandiisi :
Luno lwe lukalala lw’ebiwandiiko ebyawandikibwa omuwandiisi ono.
NOVODOR FC ow’okulalwanyisa ekiwuka ekirya Lumonde ki Kolorado
Sirowooza nti nina okwanjula akawuka ka Lumonde kano ka (Leptinotarsa decemlineata) kubanga buli omu akimanyi nti akawuka kano kazibu nnyo naddala bwegutuuka mu kwonoona Lumonde ara nga kazibu okwewala nga omuntu takozeseza ddagala. Mu kaseera kano tewali amanyi ngeri ndala yonna esobola kukozesebwa kugoba kawuka kano nga omuntu takozeseza ddagala.
Olw’omukaaga 23.7.2011 20:20 | Fulumya mu kyapa | Ebimera ebizungu
Omuti gwa Taaba Nicotiana glauca – ekimera ky’okulubalaza ekirengekeka!

Omuti gwa Taaba (Nicotiana glauca)
Ebyetaago by’omuntu okufuna ekintu ekipya buli lukedde tebikoma. N’lwekyo n’ebirooto by’omulimi okulima ekintu ekipya nabyo tebikoma – ekintu omulimi omulala kyatalina. Akatale kebirime n’olwekyo kawa omulini ekintu ekipya buli mwaka –okukakanya enjala y’omulimi okufuna ekintu ekipya asobola okumatira. Akatale kobusuubuzi kajja kubunyisa omuti gwa taaba ku buli mulimi mangu ddala!
Olw’okutaano 22.7.2011 15:19 | Fulumya mu kyapa | Ebimera ebizungu
Omuyembe gwa Kalimantan, Kasturi (Mangifera casturi)
Omuyembe gwa Kalimantan (Mangifera casturi) oba Kasturi nga bwebatera okuguyita muti gumera mu bitundu bya nkuba era nga guwanvuwa mita wakati we 10 ne 30 era nga gusangibwa nnyo mu Banjarmasin ekiri mu maserengeta ga Borneo (Indonesia). Ennaku zino tegutera kulabika olw’okuba nti bagitema nnyo. Wabula ebisera ebimu gukyasimbibwa mu kitundu kino olw’obuwoomi bwegulina.
Olw’okuna 21.7.2011 15:26 | Fulumya mu kyapa | Ebimera ebizungu
Emiyembe gya Indoneziya
Ku kizinga kya Borneo mu Indoneziya kuliko ebika by’emiyembe (Mangifera) 34 ebyemeza byokka ku kizinga. Egisinga ku bikka by’emiyembe gino biyolekede kufumwa olw’abasazi b’emiti abassuse. Egimu ku miyembe gino okugeza egya Kalimantan (Mangifera casturi) gyo munsiko kati tegikyalimu.
Egimu ku miyembe egikyaliwo okugeza ku kizinga Bormeo mwemuli Mangifera griffithi (gino gisinga kuyitibwa mannya gano: (asem raba, ne romian) Mangifera pajang (asem payang), Mangifera quadrifida (asem kipang) ne Mangifera torquenda (asem putaran).
Olw’okusatu 1.6.2011 19:27 | Fulumya mu kyapa | Ebimera ebizungu
Ekinazi Parajubaea torallyi
Parajubaea torallyi kinazi kirungi ekigumu ekiva mu MAsengeta g’America. Wabula tekitera kusimbibwa balimi wabweru wa Bolivia, gyekisibuka kubanga kirina ensigo nnene (ekyetagisa ebbeyi ennene mu ku kisabaza)
Kisibuka mu Bolivia era nga kikulira mu bitundu ebikalu ebirimu enfuufu ku lubalama oluli mu buwanvu obuli wakati wa 2700– 3400 okusuka semayanja. N’olwekyo ekimera kino kye kyoka ekikulira ku lubalama oluli wagulu ennyo ne semayanja mu nsi yonna. Ebugumu teritera kusuka 20 °C era n’omuzira gw’ekiro butera nnyo okubeera mu bitundu nga bino. Ebbugumu litera okukka wansi w’obunyogovu obuli wansi wa –7 °C mu biseera bt’omwezi g’womusanvu no ogw’omunaana era mu mwaka enkuba ettonya era mu bungi bwa 550 mm.
Olw’okubiri 31.5.2011 19:24 | Fulumya mu kyapa | Ebinazi
Ekinazi ekiggumira omuzira Rhapidophyllum hystrix (Ekisansa)

Rhapidophyllum hystrix
Rhapidophyllum hystrix kye kimu ku binazi ebisiinga ennyo okugumira omuzira. Kiri ekika kimu mu lulyo lwa Rhapidophyllum. Kisinga kukulira mu bisenyi by’amaserengeta ga America. Wabula ku lw’okuba nti bigumira nnyo omuzira ku bunnyogovu obuli ku 20 °C kati kya tutumu nnyo mu nsi yonna naddala mu Bungereza.
Olusooka 30.5.2011 19:20 | Fulumya mu kyapa | Ebinazi
Breadfruit Artocarpus odoratissimus, Marang
Genus Breadfruit (Artocarpus) birimu ebika nga 60 eby’emiti gya tropical egyakiragala okuva mu lulyo lwa Moraceae (olulyo lwa mulberry oba fig). Bisangibwa mu maserengeta ga Asia ne mu bizinga bya semayanja. Breadfruit birina akakwate ne Ficus (emiti gya fig). ekika kya breadfruit ekisinga okulimibwa kye Artocarpus altilis. Ebika ebirala nga Artocarpus communis, Artocarpus integer (Cempedak), Artocarpus heterophyllus (Fene, Nangka) ne Artocarpus odoratissimus (Marang) nabyo bika mu lulyo lwa breadfruit.
Sabiiti 29.5.2011 19:15 | Fulumya mu kyapa | Ebimera ebizungu
Kiwano – Cucumis metuliferus
Ekibala ky’ekiwano kiwanvuwa 10–15 cm kirabikira ddala nga omucungwa. Kiva mu lulyo lwa cukkamba. Ekibala kirina obuggwa obutono ku kikuta kyabwo ekiyinza okukulowoozesa nti kino kye kimu ku by’okulwanyisa ebyedda. Ekikuta kyakyo kya kiragala era nga kirina obusigo obweru obwenkana 5–10mm. Bwekiba nga tekinnaba kwengera kibeera mu langi ya kiragala.
Olw’omukaaga 28.5.2011 18:48 | Fulumya mu kyapa | Ebimera ebizungu
Welwitschia mirabilis – okulima zi fossil ennamu!

Welwitschia mirabilis
Welwitschia (Welwitschia mirabilis) Kimera kikadde nnyo ekimerera ku lubalama lwa semayanja Atlantic mu Namibia n’amaserengeta ga Angola. Mu butuufu Welwitschia gubeera muti wadde nga mu kusooka tosobola kumanya nti muti. Omuti gwona gulina enduli emu ennyimpi era kuno kuliko ebikoola 2– bino biringa obugoye obusibidwako era nga bulinga obuguwa obwakala. Mu biseera ebimu Welwitschia gulinga ekituuti kya kasasiro!

Welwitschia mirabilis
Ebiseera ebisina ekimera kino kibeera kizaala (ne bwekibeera ekiseera si kyakuzaala) – kino sikyabulijjo mu bibala. Bwekiba kizaala, Welwitschia kyetaaga omuti omukazi n’omusajja okusobola okukola ensigo. Ebimuli bibeera mu kakopo nga ako aka pine era nga bino byekwese mu bikoola.
Obukopo obulimu enkwaso y’ekikazi bwebukula bwabika ne buta ensigo eziriko obwoya obutwalibwa empewo.
Bigwa mu kika ky’ebibala ebikadde ennyo ebimanyidwa nga Gnetophyta era nga bino birina nnyo oluganda ne conifers (Pinophyta). Gnetophyta birina olulyo olwenjawulo lwa mirundi 3 bwekituuka ku ndabika Gnetum – lianas ebirina abikoola ebigazi Ephedra – omuddo ate ne Welwitschia.
Ki Welwitschia erinya lyakyo kirijja ku kakensa w’ebibala omusloveki amanyidwa nga Friedrich Welwitsch eyakivumbula mu mwaka gwa 1860. Ki Welwitschia kye kimu ku bikola akabonero k’egwanga lya Namibia.

Ensigo Welwitschia
Ki Welwitschia kigumira nnyo embera y’omu ddungu. Tekyesigamye nnyo ku nkuba era nga amazzi gaakyo kigajja ku kalenge ava mu semayanja. Kino olina okukimanya nga osimba Welwitschia. Nsonga esinga obukulu lwaki okusiimba ki Welwitschia kulema kwekuba nti kifukirirwa amazzi mangi agaletera ekimera kino okuffa. N’olwekyo kyamugaso okusimba ekimera kino mu musenyu (ogulimu obuyinja obutono obwenkana 2–5mm) kubanga amazzi bwegasigala mu ttaka amangi kya bulabe nnyo eri ekimera kino. Kirungi okufukirira ekimera kino n’obwegendereza si nakindi, okunyogozaawo obunyogoza. Ensigo emerukira mu banga lya sabiiti 1. Ekimera kisobola n’okusimbibwa ku dirisa eritunudde mu maserengeta. Nga osiimba Welwitschia, olina okubeera n’obugumunkiriza kubanga ekimera kino kikula mpola nnyo. Mu butuufu kino ki dinosaur kye nyini! Bwekiwebwa ekitangala ekimala n’amazzi amatono, mu butuufu ekimera kino kirina okukula okukusinga!
Olw’okutaano 27.5.2011 18:45 | Fulumya mu kyapa | Ebimera ebizungu
Amajaani ga China - werimile amajaani go!

Amajaani ga China
Nga enkomerero y’obutiti tenatuuka, buli mulimi alowooze ku ky’anasiimba sizoni ejja. Tofunamu buzibu kulima nnyaanya, paprika, ne cucumber? Olina ekirala ky’oyagala? Ekintu ekizungu ennyo? Kiki ky’olowooza ku kusimba amajaani agago omwaka guno?!
Olw’okuna 26.5.2011 18:40 | Fulumya mu kyapa | Ebimera ebizungu
Ebifa ku KPR

Gabana okumanya kwo mu kulima ebimera. Wandika ku bulimi, ebimera, ennima y’ebimera, n’ebirala. Era obikube mu Botanix eri mu lulimi lwo! Tutukirire okumanya ebisingawo.
Category: Byona Amazzi n’ebirime eby’omumazzi Ebimera ebizungu Ebinazi Ebiwuka Endagiriro ku kusimba ebimera Obutiko Omuddo