Botanix - Ekitabo ekikwata ku bimera

Botanix Luganda

Etterekero ly’omwezi: Omwezi gw’okutaano 2011 (7 textů)

Ekinazi Parajubaea torallyi

Parajubaea torallyi kinazi kirungi ekigumu ekiva mu MAsengeta g’America. Wabula tekitera kusimbibwa balimi wabweru wa Bolivia, gyekisibuka kubanga kirina ensigo nnene (ekyetagisa ebbeyi ennene mu ku kisabaza)

Kisibuka mu Bolivia era nga kikulira mu bitundu ebikalu ebirimu enfuufu ku lubalama oluli mu buwanvu obuli wakati wa 2700– 3400 okusuka semayanja. N’olwekyo ekimera kino kye kyoka ekikulira ku lubalama oluli wagulu ennyo ne semayanja mu nsi yonna. Ebugumu teritera kusuka 20 °C era n’omuzira gw’ekiro butera nnyo okubeera mu bitundu nga bino. Ebbugumu litera okukka wansi w’obunyogovu obuli wansi wa –7 °C mu biseera bt’omwezi g’womusanvu no ogw’omunaana era mu mwaka enkuba ettonya era mu bungi bwa 550 mm.

Olw’okubiri 31.5.2011 19:24 | Fulumya mu kyapa | Ebinazi

Ekinazi ekiggumira omuzira Rhapidophyllum hystrix (Ekisansa)

ekifaananyi

Rhapidophyllum hystrix

Rhapidophyllum hystrix kye kimu ku binazi ebisiinga ennyo okugumira omuzira. Kiri ekika kimu mu lulyo lwa Rhapidophyllum. Kisinga kukulira mu bisenyi by’amaserengeta ga America. Wabula ku lw’okuba nti bigumira nnyo omuzira ku bunnyogovu obuli ku 20 °C kati kya tutumu nnyo mu nsi yonna naddala mu Bungereza.

Olusooka 30.5.2011 19:20 | Fulumya mu kyapa | Ebinazi

Breadfruit Artocarpus odoratissimus, Marang

Genus Breadfruit (Artocarpus) birimu ebika nga 60 eby’emiti gya tropical egyakiragala okuva mu lulyo lwa Moraceae (olulyo lwa mulberry oba fig). Bisangibwa mu maserengeta ga Asia ne mu bizinga bya semayanja. Breadfruit birina akakwate ne Ficus (emiti gya fig). ekika kya breadfruit ekisinga okulimibwa kye Artocarpus altilis. Ebika ebirala nga Artocarpus communis, Artocarpus integer (Cempedak), Artocarpus heterophyllus (Fene, Nangka) ne Artocarpus odoratissimus (Marang) nabyo bika mu lulyo lwa breadfruit.

Sabiiti 29.5.2011 19:15 | Fulumya mu kyapa | Ebimera ebizungu

Kiwano – Cucumis metuliferus

Ekibala ky’ekiwano kiwanvuwa 10–15 cm kirabikira ddala nga omucungwa. Kiva mu lulyo lwa cukkamba. Ekibala kirina obuggwa obutono ku kikuta kyabwo ekiyinza okukulowoozesa nti kino kye kimu ku by’okulwanyisa ebyedda. Ekikuta kyakyo kya kiragala era nga kirina obusigo obweru obwenkana 5–10mm. Bwekiba nga tekinnaba kwengera kibeera mu langi ya kiragala.

Olw’omukaaga 28.5.2011 18:48 | Fulumya mu kyapa | Ebimera ebizungu

Welwitschia mirabilis – okulima zi fossil ennamu!

ekifaananyi

Welwitschia mirabilis

Welwitschia (Welwitschia mirabilis) Kimera kikadde nnyo ekimerera ku lubalama lwa semayanja Atlantic mu Namibia n’amaserengeta ga Angola. Mu butuufu Welwitschia gubeera muti wadde nga mu kusooka tosobola kumanya nti muti. Omuti gwona gulina enduli emu ennyimpi era kuno kuliko ebikoola 2– bino biringa obugoye obusibidwako era nga bulinga obuguwa obwakala. Mu biseera ebimu Welwitschia gulinga ekituuti kya kasasiro!

ekifaananyi

Welwitschia mirabilis

Ebiseera ebisina ekimera kino kibeera kizaala (ne bwekibeera ekiseera si kyakuzaala) – kino sikyabulijjo mu bibala. Bwekiba kizaala, Welwitschia kyetaaga omuti omukazi n’omusajja okusobola okukola ensigo. Ebimuli bibeera mu kakopo nga ako aka pine era nga bino byekwese mu bikoola.

Obukopo obulimu enkwaso y’ekikazi bwebukula bwabika ne buta ensigo eziriko obwoya obutwalibwa empewo.

Bigwa mu kika ky’ebibala ebikadde ennyo ebimanyidwa nga Gnetophyta era nga bino birina nnyo oluganda ne conifers (Pinophyta). Gnetophyta birina olulyo olwenjawulo lwa mirundi 3 bwekituuka ku ndabika Gnetum – lianas ebirina abikoola ebigazi Ephedra – omuddo ate ne Welwitschia.

Ki Welwitschia erinya lyakyo kirijja ku kakensa w’ebibala omusloveki amanyidwa nga Friedrich Welwitsch eyakivumbula mu mwaka gwa 1860. Ki Welwitschia kye kimu ku bikola akabonero k’egwanga lya Namibia.

ekifaananyi

Ensigo Welwitschia

Ki Welwitschia kigumira nnyo embera y’omu ddungu. Tekyesigamye nnyo ku nkuba era nga amazzi gaakyo kigajja ku kalenge ava mu semayanja. Kino olina okukimanya nga osimba Welwitschia. Nsonga esinga obukulu lwaki okusiimba ki Welwitschia kulema kwekuba nti kifukirirwa amazzi mangi agaletera ekimera kino okuffa. N’olwekyo kyamugaso okusimba ekimera kino mu musenyu (ogulimu obuyinja obutono obwenkana 2–5mm) kubanga amazzi bwegasigala mu ttaka amangi kya bulabe nnyo eri ekimera kino. Kirungi okufukirira ekimera kino n’obwegendereza si nakindi, okunyogozaawo obunyogoza. Ensigo emerukira mu banga lya sabiiti 1. Ekimera kisobola n’okusimbibwa ku dirisa eritunudde mu maserengeta. Nga osiimba Welwitschia, olina okubeera n’obugumunkiriza kubanga ekimera kino kikula mpola nnyo. Mu butuufu kino ki dinosaur kye nyini! Bwekiwebwa ekitangala ekimala n’amazzi amatono, mu butuufu ekimera kino kirina okukula okukusinga!

Olw’okutaano 27.5.2011 18:45 | Fulumya mu kyapa | Ebimera ebizungu

Amajaani ga China - werimile amajaani go!

ekifaananyi

Amajaani ga China

Nga enkomerero y’obutiti tenatuuka, buli mulimi alowooze ku ky’anasiimba sizoni ejja. Tofunamu buzibu kulima nnyaanya, paprika, ne cucumber? Olina ekirala ky’oyagala? Ekintu ekizungu ennyo? Kiki ky’olowooza ku kusimba amajaani agago omwaka guno?!

Olw’okuna 26.5.2011 18:40 | Fulumya mu kyapa | Ebimera ebizungu

Ngeri ki ey’okulwanyisaamu Kawukumi?

Nsubira tekyetagisa kukunyonyola Kawukumu kye ki. Kino kirina obunene bwa 3–4mm era nga kisobola n’okusangibwa mu ffumbiro.

Olw’okusatu 25.5.2011 16:31 | Fulumya mu kyapa | Ebiwuka

Continue: Tewali mikko mirala. Ddayo wagulu w’eterekero

Ebifa ku KPR

KPR – Ekibiina ky’abalimi mu Slovakia
KPR – Ekibiina ky’abalimi kye Kibiina ekigata abalimi mu nsi yonna. Soma ebisinga...
Gabana okumanya kwo mu kulima ebimera. Wandika ku bulimi, ebimera, ennima y’ebimera, n’ebirala. Era obikube mu Botanix eri mu lulimi lwo! Tutukirire okumanya ebisingawo.

Category: Byona Amazzi n’ebirime eby’omumazzi Ebimera ebizungu Ebinazi Ebiwuka Endagiriro ku kusimba ebimera Obutiko Omuddo