Botanix - Ekitabo ekikwata ku bimera

Botanix Luganda

Etterekero ly’omwezi: Omwezi gw’omusanvu 2011 (8 textů)

Kiki ky’olina okukozesa omuddo ogusayiddwa?

Bw’oba nga oyagala omuddo omulungi ogusayidwa akakeeka, otekwa okusaawa omuddo gwo buli kiseera. Mu kiseera ekyo, omuddo ogusayibwa buli kadde guleeta kasasiro omungi ekiyinza ate okukuwa obuzibu. Abalimi abasinga omuddo gunno bagusuulira wamu ne kasasiro. Kino sikikiririzaamu kubanga abantu babeera bakasukayo nakivundira asinga okubeera ow’ebeeyi!

Olw’okuna 28.7.2011 10:47 | Fulumya mu kyapa | Omuddo

Ngeri ki gy’oyinza okusaawa mu omuddo gwo obulungi?

Kirungi okusaawa omuddo mu ngeri ennungi okusobola okufuuna omuddo omukwafu oguluinga akakeeka.

Olw’okusatu 27.7.2011 17:57 | Fulumya mu kyapa | Omuddo

Okusiimba omuddo omupya

Mu bungeeza ekiseera eky’okusimbamu omuddo omupya oba okusimba omuddo omulala kye kya omwezi gw’okutaano wamu n’ogwa omukaaga. Bw’eba nga enkuba tetonye nnyingi, olwo osobola okugusiimba mu mwezi gw’omusanvu.

Olw’okubiri 26.7.2011 13:25 | Fulumya mu kyapa | Omuddo

Ennima ya Clover ey’ebikoola ebina (Marsilea quadrifolia)

ekifaananyi

Clover Ey’ebikoola ebina (Marsilea quadrifolia) kimera kya mu mazzi era nga ebikoola byayo birabikira ddala nga zi clover. Gwe bw’oba nga olowooza nti ebikoola by’omu mazzi ne zi clover tebirina kyebifananya, ddamu werowooze! Bino byombi binyonyola enkula y’ebibala ebitali byabulijjo mu bulamu bw’okulima naye nga ate birungi nnyo mu kutiimba.

Olusooka 25.7.2011 15:23 | Fulumya mu kyapa | Amazzi n’ebirime eby’omumazzi

Khasi Pine (Pinus kesiya)

Khasi Pine (Pinus kesiya) ali mu bika bya pine ebiva mu semazinga wa Asia asinga okukula amangu era nga tatera kusangika wabweru wa semazinga ono. Emiti giwanvuwa okutuuka ku mita 30 oba 35 ate nga enduli eyinza okugaziwa n’etuuka ku bunene bwa diameta 1. Buli ttabi lirina obuti 3 era nga buli kamu kawanvuwa okutuuka ku sentimita 15 oba 20. Ebibala by’omuti guno bigejja okuva ku sentimita 5 okutuuka ku 9 era nga ensigo ziri kubunene bwa sentimita 1,2 okutuusa ku 2,5.

Sabiiti 24.7.2011 17:44 | Fulumya mu kyapa | Ebimera ebizungu

NOVODOR FC ow’okulalwanyisa ekiwuka ekirya Lumonde ki Kolorado

Sirowooza nti nina okwanjula akawuka ka Lumonde kano ka (Leptinotarsa decemlineata) kubanga buli omu akimanyi nti akawuka kano kazibu nnyo naddala bwegutuuka mu kwonoona Lumonde ara nga kazibu okwewala nga omuntu takozeseza ddagala. Mu kaseera kano tewali amanyi ngeri ndala yonna esobola kukozesebwa kugoba kawuka kano nga omuntu takozeseza ddagala.

Olw’omukaaga 23.7.2011 20:20 | Fulumya mu kyapa | Ebimera ebizungu

Omuti gwa Taaba Nicotiana glauca – ekimera ky’okulubalaza ekirengekeka!

ekifaananyi

Omuti gwa Taaba (Nicotiana glauca)

Ebyetaago by’omuntu okufuna ekintu ekipya buli lukedde tebikoma. N’lwekyo n’ebirooto by’omulimi okulima ekintu ekipya nabyo tebikoma – ekintu omulimi omulala kyatalina. Akatale kebirime n’olwekyo kawa omulini ekintu ekipya buli mwaka –okukakanya enjala y’omulimi okufuna ekintu ekipya asobola okumatira. Akatale kobusuubuzi kajja kubunyisa omuti gwa taaba ku buli mulimi mangu ddala!

Olw’okutaano 22.7.2011 15:19 | Fulumya mu kyapa | Ebimera ebizungu

Omuyembe gwa Kalimantan, Kasturi (Mangifera casturi)

Omuyembe gwa Kalimantan (Mangifera casturi) oba Kasturi nga bwebatera okuguyita muti gumera mu bitundu bya nkuba era nga guwanvuwa mita wakati we 10 ne 30 era nga gusangibwa nnyo mu Banjarmasin ekiri mu maserengeta ga Borneo (Indonesia). Ennaku zino tegutera kulabika olw’okuba nti bagitema nnyo. Wabula ebisera ebimu gukyasimbibwa mu kitundu kino olw’obuwoomi bwegulina.

Olw’okuna 21.7.2011 15:26 | Fulumya mu kyapa | Ebimera ebizungu

Continue: Tewali mikko mirala. Ddayo wagulu w’eterekero

Ebifa ku KPR

KPR – Ekibiina ky’abalimi mu Slovakia
KPR – Ekibiina ky’abalimi kye Kibiina ekigata abalimi mu nsi yonna. Soma ebisinga...
Gabana okumanya kwo mu kulima ebimera. Wandika ku bulimi, ebimera, ennima y’ebimera, n’ebirala. Era obikube mu Botanix eri mu lulimi lwo! Tutukirire okumanya ebisingawo.

Category: Byona Amazzi n’ebirime eby’omumazzi Ebimera ebizungu Ebinazi Ebiwuka Endagiriro ku kusimba ebimera Obutiko Omuddo