Botanix - Ekitabo ekikwata ku bimera

Botanix Luganda

Kiki ky’olina okukozesa omuddo ogusayiddwa?

Bw’oba nga oyagala omuddo omulungi ogusayidwa akakeeka, otekwa okusaawa omuddo gwo buli kiseera. Mu kiseera ekyo, omuddo ogusayibwa buli kadde guleeta kasasiro omungi ekiyinza ate okukuwa obuzibu. Abalimi abasinga omuddo gunno bagusuulira wamu ne kasasiro. Kino sikikiririzaamu kubanga abantu babeera bakasukayo nakivundira asinga okubeera ow’ebeeyi!

Omuddo mulungi mu ngeri nnyingi, era nga nakivundira y’omu ku migaso gino (Kino kizingiraamu omuddo, ebikuta bya pine n’ebirala bingi) era nga bikozesebwa mu kubikka ebirime wamu n’ebimuli. Nakivundira ono ayamba ettaka obutafulumya mazi mangi, akuuma ettaka nga liwewera okumala ebbanga ddene era n’aletawo embera ennungi obuwuka obukola ettaka we bukulira. Omuddo guno ogusayiddwa gwetukozesa okubikka ebimera, okuleeta ebirisa mu ttaka ebimera byaffe kye byetaaga.

Nakivundira ono ayamba ebibala gamba nga ennyanya obutayatikayatika. Bw’okozesa omuddo guno okubikka ettaka, kiyamba ebibala singa bigwa ku ttaka obutayononeka. Ebikuta bya pine tebirina nnyo kirisa n’olwekyo bisinga kukozesebwa mu kubikka bisaawe, nimiiro wamu n’ebirala.

««« Ekiwandiiko ekyavudewo: Ngeri ki gy’oyinza okusaawa mu omuddo gwo obulungi? Ekiwandiiko ekidako: Okusimba ettungulu ly’ekimuli wamu n’ensigo yakyo»»»

Olw’okuna 28.7.2011 10:47 | Fulumya mu kyapa | Omuddo

Ebifa ku KPR

KPR – Ekibiina ky’abalimi mu Slovakia
KPR – Ekibiina ky’abalimi kye Kibiina ekigata abalimi mu nsi yonna. Soma ebisinga...
Gabana okumanya kwo mu kulima ebimera. Wandika ku bulimi, ebimera, ennima y’ebimera, n’ebirala. Era obikube mu Botanix eri mu lulimi lwo! Tutukirire okumanya ebisingawo.

Category: Byona Amazzi n’ebirime eby’omumazzi Ebimera ebizungu Ebinazi Ebiwuka Endagiriro ku kusimba ebimera Obutiko Omuddo