Kitengejja w’abayindi (Nelumbo nucifera)
Ekimuli kya Kitengejja w’abayindi
Kitengejja w’abayindi (Nelumbo nucifera) kimera kirungi ekikulira ku mazzi era nga kirina ebikoola ebitengejjera ku mazzi ebya langi eya kippapaali. Ebimuli ebya kakobe bitera kusangibwa ku matabi g’ekimera kino agaviira ddala wansi mu mazzi. Mu diini y’e Kibudda, ekimuli kino kitwalibwa nga kyamuwendo nnyo kubanga kikozesebwa nnyo ku mikolo gy’okusinza. Ekimera kino kyon kiribwa newankubade nga ensigo n’emirandira byebisinga okuliibwa mu bukiika ddyo bw’obuvanyuba bwa semazinga Asia. Kitengejja ono asobola okusimbibwa engeri y’emu nga ekimuli kya liili ekiwunya akawoowo. Si kizibu nnyo okusimba ekimera kino mu mbeza zaffe, omuntu alina kumanya kya kukola kyoka!
Okusimba kitengejja w’abayindi okuviira ddala ku ensigo, ekikuta eky’okungulu ekikaluba kirina kusoka kuwawulwaako n’oluwawu n’obwegendereza kino kisoozese amazzi okuyingira munda agakiyamba okumeruka. Ekikuta eky’okungulu kisigala nga kikyali kigumu, ensigo esigala nnamu okumala ebyeya n’ebisiibo. Wabula bwekitekebwa mu mazzi kitwala emyaka mingiko okutandika okumera.
Kitengejja ng’amera
Ddi lw’omanya nga ekikuta ky’owawudde ky’ekyo ekimala?
Kino osobola okukitegerera ku bunene ki ensigo eno bweyeyongerako bwekiba kitekedwa mu mazzi. Ensigo eno singa yekubisaamu emirundi ebiri oluvanyuma lw’okutekebwa mu mazzi okumala essaawa 24 olwo kibera tekikyetagisa kuddamu kuwawula. Bwekitaba kityo oba wetaaga okuddamu okuwawula ensigo eno era oddemu ogiteeke mu mazzi okumala essaawa 24 okebere obunene bwaayo. Enkola eno erina okuddingana okuttuusa nga ensigo yekubisizzamu emirundi 2.
Ensigo yetaaga mazi goka…
Okuwawulwa bwekuba kuwedde bulungi, nnyika ensigo mu mazzi. Ebbugumu ly’amazzi gano lirina kuba wakati wa 27°C ne 28°C (Wadde nga ensigo esobola okukubisa mu bunene bwayo mu bugumu erya 20°C). Ku bugumu lino ensigo emera mangu era mu banga lya sabiiti emu obukoola butandika okulabika. Laba ebikwata ku biffaananyi .
Mangu ddala nga ekikoola ekisooka kimaze okuvaayo, samba ensigo eno muttosi oba mukidiba era nga amazzi tegatekwa kusukka 30cm okuva ku ttosi. Bwekiba nga ettaka erikozesedwa ly’akidiba, olwo ekimuli kino kisobola okukulira mu kidiba omuli ebyenyanja.
Mpola mpola nga ekimera bwekikula, kijja kwetaga ekifo ekigazi. Ojja kukisimba mu kidiba oba mu kiyumba ky’ebibala oba mu kifo ekirala kyona ekitalimu muzira. Ebugumu eryetagisa lili wakati wa 20°C ne 35°C.
Mu mbeera yaffe ey’obudde, kyabulijjo ebugumu okubera ettono naye ekimera kisobola okukuliramu nga tekifunyemu buzibu bwonna. Mu biseera by’omusaana osobola okukyusa ekimer kino n’okiizza mu kidiba kwa wabweru naye mu biseera by’obutiti kirina kubeera mu nju. Mu mbeera ey’obuzibu ekimuli kino kisobola okuberawo era nga ekimuli kya liili bw’ekikola mu kyeya.
Engeri ennungi ey’okusimbamu ekimuli kino kwe kukozesa ekisenge ekikube engalama nga kisobola okuberamu amazzi okuva ku lita 60 oba 80, zino zigula ensimbi z’abulaya nga 10 buli emu. Goberera enkola eno; Tteka ensigo yo mu ttosi oba mu ttaka ly’ekidiba ky’ebyenyanja mu kikebe mw’otade ekimuli olwo oteeke ekikebe mu kipiipa kiri. Olw’okkula obulungi, juuza ekipiipa kino n’amazzi.
Omugaso gw’okukozesa ekipiipa kwekuba nti ekipiipa kino kisobola okutekebwa mu nimiiro yo oba mu nju. Sina oba okitadde mu nju, kirungi okiteeke kumpi n’edirisa (nadala edirirsa eriri okumpi n’olubalaza) okukakasa nti ekimuli kino kifuna omusana ogumala wamu n’olubugumu. Mu biseera by’omusana, tteka ekipiipa kino kulubalaza naddala amasengeta oba kiteeke mu nnimiro. Nga bw’olabye, ekimuli kino kyangu nnyo okusimba, nebwekibera mu nyumba!
««« Ekiwandiiko ekyavudewo: Okusimba ettungulu ly’ekimuli wamu n’ensigo yakyo Ekiwandiiko ekidako: Omuti gw’olubalama lwa Buyindi (Pongamia pinnata)»»»
Olw’okubiri 20.9.2011 21:13 | Fulumya mu kyapa | Amazzi n’ebirime eby’omumazzi
Ebifa ku KPR
Gabana okumanya kwo mu kulima ebimera. Wandika ku bulimi, ebimera, ennima y’ebimera, n’ebirala. Era obikube mu Botanix eri mu lulimi lwo! Tutukirire okumanya ebisingawo.
Category: Byona Amazzi n’ebirime eby’omumazzi Ebimera ebizungu Ebinazi Ebiwuka Endagiriro ku kusimba ebimera Obutiko Omuddo