Botanix - Ekitabo ekikwata ku bimera

Botanix Luganda

Breadfruit Artocarpus odoratissimus, Marang

Genus Breadfruit (Artocarpus) birimu ebika nga 60 eby’emiti gya tropical egyakiragala okuva mu lulyo lwa Moraceae (olulyo lwa mulberry oba fig). Bisangibwa mu maserengeta ga Asia ne mu bizinga bya semayanja. Breadfruit birina akakwate ne Ficus (emiti gya fig). ekika kya breadfruit ekisinga okulimibwa kye Artocarpus altilis. Ebika ebirala nga Artocarpus communis, Artocarpus integer (Cempedak), Artocarpus heterophyllus (Fene, Nangka) ne Artocarpus odoratissimus (Marang) nabyo bika mu lulyo lwa breadfruit.

Mu kiwandiiko kino tugenda ku kwanjula ku Marang (Artocarpus odoratissimus). GHuno muti ogwa kiragala enyo okuva mu kizinga kya Borneo mu Indonesia. Wabula kirimibwa nnyo mu nsi eziriranye Malaysia, Thailand ne Philippines okusobola okubitunda mu butale. Mu nnimi ennansi kiyitibwa: Atau, Keiran, Loloi, Madang, Marang, Pi-ien, Pingan, Tarap, Terap ne Khanun Sampalor. Ekika kino tekiwanyidwa wabweru wa nsi ezo ezogedwako wagulu. Ku ttale, bikulira mu musenyu mu bibira ku buwanvu bwa 1000 m okussuka semayanja.

Omuti gwa Artocarpus odoratissimus guwanvuwa mita 25 era nga ebikoola birina obuwanvu bwa 16 ku 50 cm n’obugazi bwa 11 to 28 cm.

Nga bwekiri nti kyezaalamu kyoka, ekimera ekimu kimala okukola ebibala. Ebibala by’omuti guno byakiragala era nga byekulungirivu nga eggi, biwanvuwa 16cm nga n’obugazi bwa 13cm , kizitowa kilo 1 era nga kisobola okuliibwa nga kibisi oba nga kifuumbe. Ensigo zo wabula zirina kusooka kufumbibwa okuliibwa.

Ekibala kino mmere nkulu eri abantu bomu maserengeta ga Asia. Eby’omunda byonna byeru nga omuzira wabula nga yo ensigo ewooma nnyo eina akawoowo akalungi era nga ewunyamu nga Durian (Durio, ekibala ekisinga okuwunya obulungi ku nsi).

Engeri esinga obulungi ey’okubunyisaamu Marang Artocarpus odoratissimus ye y’okukozesa ensigo. Ensigo ezitanakadiwa zikula bulungi era mu banga lya sabiiti emu zimera zimaze okumeruka. Wabula okukula kw’ensigo zino zononeka singa ziterekebwa okumala ebanga lya sabiiti nga 3. N’olwekyo ensigo zirina okusimbibwa mu lusenyi, mu ttaka eriyitamu obulungi amazzi mangu dala nga zakamala okukungulwa. Okuzisimbira ku lukalu si kulungi ate ebiwuka n’endwadde tebitera kulumba miti gino.

Ekibala kino tekigumira muzira. Olw’embera yagyo eya tropical, ebugumu terikeekwa kukka wansi wa 7 °C. Mu bitundi bya tropical oba subtropical, ekimera kino kisobola okulimibwa mu nnimiro wabula mu bitundu ebirimu omuzira, buteekwa okutekebwa mu nyumba oba mu biyumba by’ebimera singa omuzira gutandika.


««« Ekiwandiiko ekyavudewo: Kiwano – Cucumis metuliferus Ekiwandiiko ekidako: Ekinazi ekiggumira omuzira Rhapidophyllum hystrix (Ekisansa) »»»

Sabiiti 29.5.2011 19:15 | Fulumya mu kyapa | Ebimera ebizungu

Ebifa ku KPR

KPR – Ekibiina ky’abalimi mu Slovakia
KPR – Ekibiina ky’abalimi kye Kibiina ekigata abalimi mu nsi yonna. Soma ebisinga...
Gabana okumanya kwo mu kulima ebimera. Wandika ku bulimi, ebimera, ennima y’ebimera, n’ebirala. Era obikube mu Botanix eri mu lulimi lwo! Tutukirire okumanya ebisingawo.

Category: Byona Amazzi n’ebirime eby’omumazzi Ebimera ebizungu Ebinazi Ebiwuka Endagiriro ku kusimba ebimera Obutiko Omuddo