Khasi Pine (Pinus kesiya)

Khasi Pine (Pinus kesiya) ali mu bika bya pine ebiva mu semazinga wa Asia asinga okukula amangu era nga tatera kusangika wabweru wa semazinga ono. Emiti giwanvuwa okutuuka ku mita 30 oba 35 ate nga enduli eyinza okugaziwa n’etuuka ku bunene bwa diameta 1. Buli ttabi lirina obuti 3 era nga buli kamu kawanvuwa okutuuka ku sentimita 15 oba 20. Ebibala by’omuti guno bigejja okuva ku sentimita 5 okutuuka ku 9 era nga ensigo ziri kubunene bwa sentimita 1,2 okutuusa ku 2,5.

Omuti guno gw’ava mu bitundu bya Himalaya ekisangibwa mu bugwanjuba bwa Buyindi (wabula ennaku zino olw’emiti okussalibwa ennyo, kati gusangibwa mu bitundu by’ensozi za Khasi, n’ensozi za Naga (munsi ya Meghalaya ne Manupu), China (Mu bitundu bya Yunnan), Mu Burma (Myanmar), Mu Tayilandi ey’omumanbuka, Laos, Vietnam (Lai Chau, Lang Son, Cao Bang, QuangNinh) ne mu Philippines (Luzon). Payini ava mu Philippines ayawukanako ku mulala era ava mu kika kya Pinus Insularis. Mu nsi ya China osobola okusangayo ekika ekyefananyirizako ku kino wabula nga kyo kiyitibwa Yunnan Pine (Pinus yunnanensis)

Ekika kino kitera kusangibwa ku nsozi nga kyetobese mu bika by’emiti emirala mu ttaka erimyukirivu (eririna ph ya 4,5) era ensozi zino nga mpanvu okuva mu nnyanja mitta wakati wa 1200 ne1400. Ekitundu kino kitera okutonyamu enkuba era nga embeera y’obudde ekyuka emirundi ebiri okuva mu nkuba okutuusa mu musana. Mu bitundu bino enkuba ya manyi era nga 70% mukitundu kino ebeera nkuba.

Ekimera kino kigumira omuzira era nga bwe guba gukyakula gwekengera nnyo omuzira. Wabula tegwetaga muzira bweguba gutuuse okusalibwa.

Amanya amalala ag’omuti guno: Pinus khasya, Pinus khasyanus

Printed from neznama adresa