Clover Ey’ebikoola ebina (Marsilea quadrifolia) kimera kya mu mazzi era nga ebikoola byayo birabikira ddala nga zi clover. Gwe bw’oba nga olowooza nti ebikoola by’omu mazzi ne zi clover tebirina kyebifananya, ddamu werowooze! Bino byombi binyonyola enkula y’ebibala ebitali byabulijjo mu bulamu bw’okulima naye nga ate birungi nnyo mu kutiimba.
Clover ey’ebikoola erina omulandira omuwanvu, egikirabisa nga obuguwa bw’engatto. Ebikoola ebitengejera ku mazzi bikula okuva ku mulandira. Ebikoola bino byawudwamu emirundi 4 ebifaanana clover ey’ebikoola 4. Bw’ojja omulandira mu mazzi mu biseera by’omusaana ojja kulaba obuntu obutono (obulinga obujjanjaalo). Buno bulimu obutuli – ku kino kwekiva nebagamba nti ekimera kino kikitengejja. Kimerea mu mazzi agateese, agalimu ebiriisa mu zi semazinga zonna okujjako Amaserengeta g’America.
Mu America, ekimera kitwalibwa nga kimererezi. Mu Slovakia ekimera kino kikulira mu bifo 7 ku lubalama lw’omugga Latorica. Mu biseera eby’edda kyalabikira mu bitundu by’omugga Bodrog, Laborec ne Uh.
Mu butundu by’okulukalu waliyo ebika ebikyefaananyirizako, bino bitera kukulira mu mazzi.
Clover e’yebikoola ebina (Marsilea quadrifolia), bwekiba kisimbibwa, tekyetagisa nnyo bintu bingi kubanga kisobola okusimbibwa mu kikebe ky’ebimuli kyonna kasita kiba nga kitekeddwamu amazzi wamu m’ettaka etonotono .Osobola okusimba ekimera kino nga tofunyemu buzibu bwonna mu kikebe ekya centimita 20×20×20, naye ekikebe ekituufu kyandibade n’obugazi bwa lita 60–80 oba okusingawo. Osobola n’okusimbira ekimera kino wabweru w’enju okumala omwaka mulamba (kubanga kigumira omuzira) kubanga kyangu okulima, buli omu asobola okukirima.
Clover eno ejja kukulira bulungi mu kidiba ky’omunnimiro. Teeka ettaka tono okuva mu nnimiro yo mu kidiba olwo oteeke omulandira guno mu ttaaka. Oluvanyuma lw’ekyo, endabirira ntono nnyo eyetagisa kubanga ekibala kino kisobola okwelabirira. Ekimera kino kijja kwefaako ku bungi n’ekika ky’amazzi tebuobola kukikosa. Osobola okusimba ne kubungi bw’amazzi (5–100cm) – emirandira gy’ekimera kino gijja kuka okutuuka ku ntobo y’amazzi gano okutusa nga ebikoola byakyo bitandise okutengejja. Osobola okubazaamu ekimera kino nga osalamu omulandira gw’akyo. Omulandira omutono (nga centimita 10) gumalira ddala okukola akakeeka k’ebikola 4 ku mazzi.
Printed from neznama adresa