Omuti gw’olubalama lwa Buyindi (Pongamia pinnata)

ekifaananyi

Pongamia pinnata

Omuti gw’olubalama lwa buyindi Pongomia pinnata (Amanya amala guyitibwa: Honge, Pongam, Panigrahi) muti gwa bikoola binene nga guwanvuwa mita 15–25, era nga guli mu kika kya Fabaceae. Gugejja wagulu era nga gubeera n’obumuli obutono obuli mu langi enjeru, eyapinka wamu ne kakobe. Gusibuka Buyindi era nga gulimibwa nnyo mu maserengeta ga Asia.

Pongamia pinnata muti gukulira ku lukalu era nga gugumira nnyo omusaana wamu n’ebbugumu. Kino kiyambibwa emirandira gyagwo eminene, wabula gugumira n’ekyeya. Mu buttoned gukulira mu mbeera ya lusenyu oba ey’oluyinjayinja, wabula bw’oba wakugusimba osobola okugusimba mu buli kika kya ttaaka nga mw’otade ne ely’olunnyo.

Gutera kulimibwa mu bitundu bya ku lukalu era nga gukozesebwa mu kuleeta bisikirize ku lukalu. Ekikuta kikozesebwa mu kokola emigwa era nga amasanda gagwo gakozesebwa ku kujaanjaba biwundu ebiretedwa ebyenyanja eby’obusaggwa.

Emirandira gyagwo giyamba mu kwongera ekiriisa mu ttaka. Nolwekyo gisobola okukozesebwa nga ekigimusa mu ttaka eritaliimu nnyo kiriisa. Newankubadde nga ekimera kyona kyabutwa, omubisi wamu n’amafuta agagivaamu galimu eddagala eritta obuwuka ku mibiri. Amafuta agava mu nsigo zaayo gakozesebwa nga mafuta ga ttaala, mu kokola sabuuni, wamu n’okukola amafuta ga dizero.

Printed from neznama adresa