Obutiko obuzungu bwa tuttumu nnyo ensangi zino n’okusiinga obutiko obwabulijjo! Bw’obugerageranya ku butiko obwabulijjo (champignon mushroom)!, buno obutiko bulina omugaso gumu ogw’amanyi – tegubuzibwabuzibwa na butiko bwa buttwa (Amanita phalloides).
Obutiko obuzungu bulina Vitamins nnyingi, bulina amino acids wamu n’ebirisa ebirara bingi, bino biyamba omubiri okwetangira obuzibu obuletebwa obutwa. Buyamba n’okukakanya amasavu mu musaayi bwa mugaso nnyo mu mere kubanga tebuleeta nnyo manyi mu mubiri. Kimanyidwa nti obutiko buno bulimu ekiriisa ekirwanyisa ekirwadde kya kkokolo.
Endagiriro y’okulimamu obutiko obuzungu (Pleurotus ostreatus). Okusiimba obutiko obuzungu kulina kukolebwa mu ngeri bbiri – Okusimbibwa mu buveera oba ku nduli z’emiti.
Okusimba mu buveera Obuseke bulina okusooka okutekatekebwa. Bulina okufumbibwa okutta obuwuka. Okufumba obuseke kusoboka mu ngeri 2:
Kati teeka obuseke n’obuwunga bw’obutiko mu kaveera akanene – emyaliro gy’obuseke, obuwunga bw’obutiko etc. Ensawo 1 ey’obuwunga bw’obutiko emala obuseke obubisi obwa kiro 15–20. (bino bnijja bulungi mu nsawo eya centimita 50×100). Ensawo nga ejuudde, gisibe era osale ebituuli 10 ebyenkanankana 3–5cm ku buli nsawo.
Bw’olima obutiiko bwa Oyster mu mbera erimu amazzi amatono, osobola okukola ebituli bitono (oluvanyuma osobola okubyongerako bw’oba oyagala) obuseke busobole obutakala. Nga omaze okusiimba, ensawo zirina okutekebwa mu kisikirize omusana gosobole obutazakako nnyo.
Ebbugumu eddungi ery’okulimiramu obutiko buno lili 15–25 °C. Ebugumu gyerikoma okubeera eryawagulu n’obutiko gyebukoma okukula amangu (wabula ebugumu eringi rikaza mangu obuseke).
Olw’ensonga eno kirungi okufuna ebugumu erisobola okuyamba obutiko buno okukula obulungi. Obutiko bwebuleeta obuwunga obungi okusinga ku igero ekyo ekyetagisa, buteeke mu kifo ekinyogoga ennyo. Bwewetaaga obuwunga obungi buteeke mu kifo ekirimu ku bugumu! Oluvanyuma lw’emyezi 3 ku 4 obutiko bujja kub anga butandise okulabika, wano ekirisa kijja kutandika okukendera era kijja ku kwetagisa okukyusa enkola. (kino okikola nga ogata obuseke obukadde) Ensawo 1 ejj kukuwa wakati wa kilo 2–4 ez’obutiko
Okubusimbira ku nduli z’emiti Mu butonde, obutiko obuzungu bukulira ku miti egy’ebikoola. Ku lw’ensonga eno, naawe osobola okubusiimba ku miti egiwera 30–80cm. Osobola okukozesa ebisiki eby’ebika byonna kasita biba nga gya bikoola. Ebisiki bino tebiteekwa kusuuka myezi 6. Waliwo engeri nnyingi ez’okusiimbamu obutiko buno ku bisiki. Kya mugaso nnyo okusimba obutiiko buno kubisiki kino kisobozese obuwuka bu bakitiriya obuva kubisiki bino okutandika okumera. Teeka ebikolo by’obutiko mu 1/3 eky’ettaka mu nnimiro yo mu kifo awali ekisikirize. Bwe wabeera nga wakalu, fukirirawo n’amazzi. Ebikolo bino bija kuleeta obutiko mu bbanga lya myaka 2–5 (okusinzira ku kiriisa ekiri mu kikolo).
Printed from neznama adresa