Welwitschia mirabilis – okulima zi fossil ennamu!

ekifaananyi

Welwitschia mirabilis

Welwitschia (Welwitschia mirabilis) Kimera kikadde nnyo ekimerera ku lubalama lwa semayanja Atlantic mu Namibia n’amaserengeta ga Angola. Mu butuufu Welwitschia gubeera muti wadde nga mu kusooka tosobola kumanya nti muti. Omuti gwona gulina enduli emu ennyimpi era kuno kuliko ebikoola 2– bino biringa obugoye obusibidwako era nga bulinga obuguwa obwakala. Mu biseera ebimu Welwitschia gulinga ekituuti kya kasasiro!

ekifaananyi

Welwitschia mirabilis

Ebiseera ebisina ekimera kino kibeera kizaala (ne bwekibeera ekiseera si kyakuzaala) – kino sikyabulijjo mu bibala. Bwekiba kizaala, Welwitschia kyetaaga omuti omukazi n’omusajja okusobola okukola ensigo. Ebimuli bibeera mu kakopo nga ako aka pine era nga bino byekwese mu bikoola.

Obukopo obulimu enkwaso y’ekikazi bwebukula bwabika ne buta ensigo eziriko obwoya obutwalibwa empewo.

Bigwa mu kika ky’ebibala ebikadde ennyo ebimanyidwa nga Gnetophyta era nga bino birina nnyo oluganda ne conifers (Pinophyta). Gnetophyta birina olulyo olwenjawulo lwa mirundi 3 bwekituuka ku ndabika Gnetum – lianas ebirina abikoola ebigazi Ephedra – omuddo ate ne Welwitschia.

Ki Welwitschia erinya lyakyo kirijja ku kakensa w’ebibala omusloveki amanyidwa nga Friedrich Welwitsch eyakivumbula mu mwaka gwa 1860. Ki Welwitschia kye kimu ku bikola akabonero k’egwanga lya Namibia.

ekifaananyi

Ensigo Welwitschia

Ki Welwitschia kigumira nnyo embera y’omu ddungu. Tekyesigamye nnyo ku nkuba era nga amazzi gaakyo kigajja ku kalenge ava mu semayanja. Kino olina okukimanya nga osimba Welwitschia. Nsonga esinga obukulu lwaki okusiimba ki Welwitschia kulema kwekuba nti kifukirirwa amazzi mangi agaletera ekimera kino okuffa. N’olwekyo kyamugaso okusimba ekimera kino mu musenyu (ogulimu obuyinja obutono obwenkana 2–5mm) kubanga amazzi bwegasigala mu ttaka amangi kya bulabe nnyo eri ekimera kino. Kirungi okufukirira ekimera kino n’obwegendereza si nakindi, okunyogozaawo obunyogoza. Ensigo emerukira mu banga lya sabiiti 1. Ekimera kisobola n’okusimbibwa ku dirisa eritunudde mu maserengeta. Nga osiimba Welwitschia, olina okubeera n’obugumunkiriza kubanga ekimera kino kikula mpola nnyo. Mu butuufu kino ki dinosaur kye nyini! Bwekiwebwa ekitangala ekimala n’amazzi amatono, mu butuufu ekimera kino kirina okukula okukusinga!

Printed from neznama adresa