Ekibala ky’ekiwano kiwanvuwa 10–15 cm kirabikira ddala nga omucungwa. Kiva mu lulyo lwa cukkamba. Ekibala kirina obuggwa obutono ku kikuta kyabwo ekiyinza okukulowoozesa nti kino kye kimu ku by’okulwanyisa ebyedda. Ekikuta kyakyo kya kiragala era nga kirina obusigo obweru obwenkana 5–10mm. Bwekiba nga tekinnaba kwengera kibeera mu langi ya kiragala.
Ebibala bino biggibwa mu nsi za Isirayiri ne mu masekati g’America. Tulya ekikuta ekya kiragala wamu n’obusigo. Ekiwano kiwoomera ddala nga cukkamba oba eryenvu. Bwetumala okulya ekibala kino tusobola okukozesa ekikuta ng’essowaani ennungi olwo ensigo ne tuzisimba. Kibala kikula mangu nnyo era nga kiffaanana nga obusomyo era nga kirina ekikolo ekiwaanvu wamu n’obuguwa obukiyamba okulanda. Ebikoola byakyo biyinza okulowoozesa omuntu nti cucumber kubanga nakyo kirina obwooya obuserera. Okuwakisa ebimuli by’ekiwano ebyenkanankana obuwanvu bwa 3mm kubera mu ngeri y’emu nga ekibala kya cukkamba. Tulina okukimanya nti ekibala kino kisobola okuvuunda nga bwekibeera mu ttaka. Ekiwano kikula bulungi mu bugumu lya 25 ºC, n’olwekyo ebugumu eribeera mu bokisi eza bulijjo lyelikumibwa ne mu kusiimba meloni oba cukkamba. Ekiwano tekigumira muzira era kyetagisa okukitteeka ebweru singa ebiseera bw’omuzira bibeera biwedeyo.
Printed from neznama adresa