Ekinazi ekiggumira omuzira Rhapidophyllum hystrix (Ekisansa)

ekifaananyi

Rhapidophyllum hystrix

Rhapidophyllum hystrix kye kimu ku binazi ebisiinga ennyo okugumira omuzira. Kiri ekika kimu mu lulyo lwa Rhapidophyllum. Kisinga kukulira mu bisenyi by’amaserengeta ga America. Wabula ku lw’okuba nti bigumira nnyo omuzira ku bunnyogovu obuli ku 20 °C kati kya tutumu nnyo mu nsi yonna naddala mu Bungereza.

ekifaananyi

Ensigo z’ekisanja (Rhapidophyllum hystrix)

Kika kya kinazi eky’amanyi ennyo, ekiwanvuwa obuwanvu bwa mita 1–3 nga kirina ekikuta ekirungi ku nduli. Rhapidophyllum Hystrix kisansa kya maggwa era nga kizaala nnyo era nga kisobola okulya ekifo ekigazi bwekitandika okuzaala. Bwewayitawo ekiseera ekinene, ekikolo kino kisobola okukola ekibira ekikwafu. Ekinazi kino tekirina nduli wabula kikola engule ekula okutuuka ku buwanvu bwa mitta 1.2 n’obwekulungirivu bwa 17.8cm. Omuti gukolebwa ebikolo by’ebikoola ebyakala, ebiwuzi wamu n’enkizi entonotono ezawanvuwa. Gitera kukula nga giwanvuwa wabula mu mbeera enfunda giteera okwewunzika nga givuganya olw’ekitangala n’ekiffo. Nga buli kikolo bwekikula, enkizi endala entono zeyongera okulabika okuva awatandikira ebikoola. Ensigo zirina okusigibwa mu ttaka ebbisi era zikumibwe ku bbugumu lya 20 °C. Mu banga ery’emyaka 3 egisooka, oweebwa amagezi okukuuma ebinazi ebito obutalumbibwa muzira. Ekinazi kino kyagala nnyo ekifo ekinyogovu mu musana oba mu kisikirize wabula nga kyetaga nnyo omusaana buli lwe kyeyongera ku buwanvu. Birabika bulungi nnyo nga bitekedwa mu bugumu ery’ekigero. Bwebisimbibwa mu musana omungi ebikoola bitela okufiirwa langi yabyo eya kiragala omukwafu. Ebimera ebikulu okusuuka emyaka 3 bisobola okusimbibwa mu nnimio okumala omwaka mulamba bw’oba nga obeera mu kifo ekirina ebugumu eritaka wansi wa –10 °C. Mu bitundu ebinyogovu ennyo, olina okuteekawo ebintu ebikuuma ebugumu nadala bwerikka wansi wa –10 °C. Nga ekinazi ekigumira omuzira, kyetagisa ettaka eliyitamu amazzi era nga birina kutekebwa mu maserengeta. Omulabe omukulu ow’ebinazi bino mu biseera by’omuzira si muzira wabula ettaka ebbisi ennyo. Obugumu ettono bwe ryegata n’amazzi byonona emirandira. Ekinazi kino kisobola okuvunuka omuzira ogutukira ddala ku –15 ku –20 °C. Ebugumu eryakamanyikako ekinazi kino lyekyavunuka lyali –28 °C.

Ebinazi ebitundibwa

Printed from neznama adresa