Parajubaea torallyi kinazi kirungi ekigumu ekiva mu MAsengeta g’America. Wabula tekitera kusimbibwa balimi wabweru wa Bolivia, gyekisibuka kubanga kirina ensigo nnene (ekyetagisa ebbeyi ennene mu ku kisabaza)
Kisibuka mu Bolivia era nga kikulira mu bitundu ebikalu ebirimu enfuufu ku lubalama oluli mu buwanvu obuli wakati wa 2700– 3400 okusuka semayanja. N’olwekyo ekimera kino kye kyoka ekikulira ku lubalama oluli wagulu ennyo ne semayanja mu nsi yonna. Ebugumu teritera kusuka 20 °C era n’omuzira gw’ekiro butera nnyo okubeera mu bitundu nga bino. Ebbugumu litera okukka wansi w’obunyogovu obuli wansi wa –7 °C mu biseera bt’omwezi g’womusanvu no ogw’omunaana era mu mwaka enkuba ettonya era mu bungi bwa 550 mm.
Kigumira nnyo eddungu, ebbugumu, obunnyogovu, omuzira n’embera endala enzibu era n’obusobozi bw’akyo okulabika obulungi buletera abamu okugamba nti ekinazi kino eky’ebyafaayo kirina obusobozi bungi mu kunyiriza nti era kirungi nnyo ku mpya mu biseera eby’ebugumu wamu ne mubitundi eby’olusenyi mu bitundi ebigwamu omuzira oba nga omuntu anyagala okwekuma eri omuzira. Kigambubwa nti mu bungereza omuzira gukwata okutuusa ku bunyogovu bwa 3°C. Obunyogozi obusinga okubeera wansi ennyo ekimera kino lye kyagumira lyali –8°C. Ebimera bino byafirwa ebikoola byona era nebisobola okubivunuka era obunnyogovu bwebwagwa, ebikoola nebiddamu okumera!
Mu Bolvia, ekinazi kino kiwanvuwa okutuusa ku buwanvu bwa 14m n’enduli ya bwekulungirivu bwa 25–35cm. Engule ennungi erina ebikoola nga 20 era nga ebimu kubyo birina obuwanvu bwa 50cm! Wabula ebimera bino ebiri wabweru wa Bolvia bitonoko.
Wabula ebika 2 mu Bolvia ebyawukanira mu bunene bw’ensigo era nga gye buvudeko byatwalibwa nga ebika ebibiri eby’enjawulo, eky’ekibala ekitono ki P. torallyi var. microcarpa n’ekyekibala ekinene ki P. torallyi var. torallyi. Newankubade nga tebyawukana nnyo mu ndabika, var. microcarpa tekitera kugejja kutuuka kine kyakyo, wabula bwegutuuka mu kugumira embera y’obude, kine kyakyo terikirina kyekisinga. Ensigo zakyo zirina erinnya ebbi ery’obutameruka. Newankubadde nga okumeruka kw’ensigo zaakyo gubeera mukisa nnyo, ensigo zitera okumeruka obulungi singa zibeera zisimbidwa obulungi, okugeza, nga zisimbidwako kitundu, ku lukalu wamu n’okukumibwa nga zitobereredde. Bwe zirabirirwa obulungi, mu bunyogovu obulimu olusanasana, ensigo zinoziyinza okuvaamu ekinazi ekiwanvu ekinene ekiringa engule.
Parajubaea torallyi kimera kimanyifu nnyo mu ku nyiriza era nga kitera kusimbibwa mu bifo bisanyusirwamu na ku nguddo. Mu Ecuador n’amaserengeta ga Colombia, Parajubaea cocoides kiterera kusimbibwa mu bitundu ebiri ku buwanvu bwa 2500 okutuusa ku mitta 3000 – kino ekimera kikula mpola era nga tekigumira nnyo omuzira. Okuva bwekiri nti kifaananamu Parajubaea torallyi era nga n’ensibuko yakyo temanyidwa, kikirizibwa nti kyava mu Parajubaea torallyi
Ekika ky’ekinazi kino ekisinga obutono kye ki Parajubaea sunkha ekyanyonyolwa mu mwaka gwa 1996. Kikula mita 8 zokka era nga kisangibwa mu lubalama lwa Adean mu bitundu bya Vallegrande, mu disiturikiti ya Santa Cruz mu Bolvia obuwanvu bw’ettaka gyebuli 1700– 2200m. Kibade nga kibuzibwabuzibwa ne Parajubaea torallyi okutuusa jjo lyabalamu okunonyereza lwekwakolebwa olwo nekitumibwa Parajubaea Sunkha.
Ebinazi okuva mu lulyo lwa Parajubaea byangu okulimibwa. Ennima esinga obulungi ye y’okukozesa ensigo. Wabula olina okubeera omugumikiriza kubanga ensigo zirwaawo nnyo okumeruka era nga kitwala omwaka nga gumu n’ekitundu. Ezimu ku nsigo zitandika okimeruka mu bbanga lya mwezi wabula nga endala zitwala omwaka gumu oba ebiri. Mu bitundu eby’ebugumu eringi (okujjako ebika by’ebinazi ebirala) ebirina obulombolombo obungi nga bumera. Ebugumu eringi litegeza biseera bya kyeya era si birungi nnyo mu kukula kw’ebinazi bino.
Nga tonasiimba, ensigo zirina okutekebwa mu mazzi agali mu bugumu lya 20 °C okumala enaku nga 5 ku 7. Ensigo ez’ebimera ebirina ensigo ennene zirina okutekebwa mu mazzi okumala sabiiti nga 2. Amazzi galina okukyusibwa buli lunaku. Ensigo zirina okuweebwa akabanga okuzisobozesa okukula obulungi.
Okunyikibwa kw’ensigo zino kwekujja okukomekereza ekiseera ensigo zino lyekimala nga kyebase olwo kitandike ekiseera eky’enkuba, ekirungi ennyo mu kukula kw’ensio zino. Okwebaka kuyamba ensigo zino obutameruka mu biseera bya musaana mu Bolvia (Mu mwezi gw’omukaaga okutuusa mu gw’ekumi).
Nga bimaze okunyikibwa, ensigo zino zirina okusimbibwa mu bikebe oba obuveera –wegendereze okulaba nga ekitundu kitono nnyo ekyensigo eno kyekibulide mu ttaka era ogikuumir mu bugumu lya 10 ku 20 °C
Engeri enuungi ey’okumera eri wakati w’ebugumu eringi (emisaana) n’ebugumu ettono (ekiro). Ensigo nga zimaze okusimbibwa, tezirina kufukirirwa nnyo kubanga amazzi amangi gayinza okwonona ebirime byo. Enjawulo eriwo mu kusiimba Parajubaea n’ebika ebirala eri mu bbugumu etono eryetagisa wamu n’amazzi amatono
Oluvanyuma lw’okusiimba, ensigo zirina okukeberebwa buli sabiiti 3 okutuuka ku 4 era ensigo ezimeruka zirina okuteekebwa mu bukebe obw’enjawulo. Abalimi b’ebinazi abamu bawa amagezi gano wamanga ku nsigo ezibeera tezimeruse mu banga lya myezi 6: Lekeraawo okufukirira oleke etaaka likale okumala emyezi. Jja ensigo mu taaka era oziize mu mazzi okumala nga sabiiti era oddemu ozisimbe.
Ensigo zino zirina okutandika okumeruka mu banga nga lya kitundu kya mwaka. Nsigo ezimu era bwezisigala nga tezimeze, damu kino era ensigo zona zirina okumera oluvanyuma lw’ekiseera ky’enkuba ekidako.
Emikisa gy’ensigo zino okukula giri 100%, olina kubeera bubeezi muguminkiriza okusobozesa ensigo ezibeera zirudewo okumeruka! Nga omaze okufuna ekinazi ekito, kibeera kigumu, wabula fuba obutakifukirira nnyo mazzi. Ekinazi ekito kyeetaga embeera eteri y’amazzi nny wadde awakalu ennyo. (mu butoonde bwabyo bikulira wansi mu bisikirize by’ebinazi ebikulu), wabula ebinazi ebikulu byetaga mu musaana.
Genus Parajubaea bye bimu ku binazi by’omumasengereta ga Africa ebisinga okuyiganyizibwa. Kino kijjawo kubanga abantu bagala aw’okulimira, okusala embaawo n’enku, wamu n’okulundirawo ente. Olw’okuba nti ebinazi bino bitera kubeera mu bifo bitoono, kino kibiretede akabi ak’okusanyizibwaawo. Olw’okuba nti ensigo z’ebirime bino nnene, ensasana yabyo nayo ntono. Ekisolo ekisinga okuzibunyisa kye ki Spectacled Bear (Tremarctos ornatus), wabua ate nga nakyo kiyiganyizibwa nnyo omuntu.
Printed from neznama adresa