Emiyembe gya Indoneziya

ekifaananyi

Emiyembe gy’akawoowo.(Mangifera odorata)

Ku kizinga kya Borneo mu Indoneziya kuliko ebika by’emiyembe (Mangifera) 34 ebyemeza byokka ku kizinga. Egisinga ku bikka by’emiyembe gino biyolekede kufumwa olw’abasazi b’emiti abassuse. Egimu ku miyembe gino okugeza egya Kalimantan (Mangifera casturi) gyo munsiko kati tegikyalimu.

Egimu ku miyembe egikyaliwo okugeza ku kizinga Bormeo mwemuli Mangifera griffithi (gino gisinga kuyitibwa mannya gano: (asem raba, ne romian) Mangifera pajang (asem payang), Mangifera quadrifida (asem kipang) ne Mangifera torquenda (asem putaran).

Omuyembe gw’akawoowo (Mangifera odorata) gwe gumu ku bika by’emiyembe ogutera okulimibwa mu maserengeta ga Asia. Gwakolebwa okuva mu kika ky’omuyembe ogusinga okumanyibwa (Mangifera indica) n’ogwa Horse Mango (Mangifera foetida). Amanya gagwo agabulijjo ge ga: Kuweni, Kuwini (mu lulimi lwa Indoneziya), kweni, asam membacang, lakiuk (mu Luminangkabau) kuweni, kebembem (mu Lubetawi); kaweni, kawini, bembem (mu Lusudani); kaweni, kuweni, kweni (mu Lujavanesi); kabeni, beni, bine, pao kabine (mu Lumadurese), kweni, weni (Mu Lubalune); mangga kuini (Mu mambuka ga Sulawesi); and kuini, guin, koini, kowini, koine, guawe stinki, sitingki, hitingki (ku bizinga bya Maluku).

Printed from neznama adresa