Omuyembe gwa Kalimantan (Mangifera casturi) oba Kasturi nga bwebatera okuguyita muti gumera mu bitundu bya nkuba era nga guwanvuwa mita wakati we 10 ne 30 era nga gusangibwa nnyo mu Banjarmasin ekiri mu maserengeta ga Borneo (Indonesia). Ennaku zino tegutera kulabika olw’okuba nti bagitema nnyo. Wabula ebisera ebimu gukyasimbibwa mu kitundu kino olw’obuwoomi bwegulina.
Ekibala ky’omuyembe guno kitono nnyo bw’okigerageranya ku miyembe emirala. Guzitowa gulamuzi nga 50 ku 80 buli gumu. Bweguba tegunayengera, erangi y’ekibala eba ya kiragala- wabula bwegwengera, gukyuka negufuuka gwa kikusikusi oba negudugalirira nga ekikuta kyagwo kimasamasa. Ebisera ebimu gubako kakobe. Entobeka ya langi yemu ku ngeri gy’oyinza okwawulamu ebika by’omuyembe guno. Waliyo ebika 3 eby’omuyembe guno. Kasturi, Mangga Cuban ne Pelipisan Ogumanyidwa ennyo gwe gwa Kasturi olw’akawoowo kagwo. Ogwa Mangga Cuban ne Pelipisan gwo ebisera ebisinga bitwalibwa nga eby’enjawulo. Wabula gwo ogwa **Pelipisan guyinza okusangibwa n’akawoowo akawoomu nga ogwa Kasturi ekiraga nti guno gwandiba nga gwava mu Kasturi. Okunoonyereza kukyetagibwa okumanya ekituufu ku miyembe gino.
Omuyembe guno munda gwa kyenvu era nga gulina akowoowo akalungi. Bwetugugerageranya n’omuyembe gwa Mangifera Indica, Kasturi teguwooma nnyo naye wabula nga gowoomerera n’akawoowo akalungi. Omuyembe guno gulina obugwogwa bungi munda.
Kasturi gwa ttutumu nnyo mu bantu b’amaserengeta ga Borneo ne mu bitundu ebiriranyewo. Akawowo k’ekibala kino kassufu ekyaretera n’abantu okukayinbamu oluyimba olugamba nti: “Seharum kasturi, seindah pelangi, semuanya bermula.” Ekitegeza nti: “Ayi, ow’akaloosa nga Kasturi, omulungi nga Musoke. Okwagala kutandise olugendo lwakwo.”
Okutema emiti mu ngeri emenya ameteeka eretedde omuti guno okuggwayo ku ttale. Omuyeme gwa Kalimantan omukadde guli mu katyabaga olw’okuba nga guvaamu embawo ennungi. Gutera kulimibwa mu bulimiro obutono mu bantu babulijjo.
Nga ojjeko eky’okuba nti gukula mangu, Omuyembe gwa Kalimantan tegulimidwa mu Indonesia olw’okubeera nti gukula mpola. Obulimi bw’omuyembe guno businga kusangibwa mu bitundu bya Mataraman (mu disturikiti ya Banjamarsin). Abantu ba Mataraman bagezaako okusimba omuyeme guno mu mwaka gwa 1980 wabula amakungula agaasoka galiwo mu mwaka gwa 2005. Newankubadde nga ekibala kino kingi nnyo mu kitundu kino naye tekinaba kumalawo bwetaavu abantu bwebalina ku kyo.
Omuyembe guno gulina emigaso ebiri gyoka; okugulya wamu n’okugutemamu embawo. Newankubade nga omuti ogukuze obulungi gulina enduli esinga mitta 1, Ababanjari (Abantu ababeera ku lubalama lwa maserengeta ga Borneo) batera kukozesa bibala byoka kubanga omuti gutwaala ebbanga ddene okukula. Olw’ensonga eno, Ababanjari bakozesa ebika by’emiti ebirala ebirina emiti emigumu nga guno okujjamu enku. Okufuna ekibala ky’omuti guno nakyo sikyangu nyo kubanga omuti guno guwanvuwa nnyo n’olwekyo okugulyako olina okuwalampira ddala – emiyembe egibeera gigudde wansi gibeera si mirungi nnyo.
Emiyembe gino gisobola okuliibwa oba okukolebwamu Kasturi jam. Wabula jam ono tatera kulabika mu katale kubanga abalimi batera okumwelira. Ebirala ebikolebwa mu muyembe guno mwemuli; omubisi, jam, Ssupu wamu n’ekipooli. Ebintu bino wabula sibyangu bya kufuna kubanga Abanjari bagala nnyo omuyembe guno. Emiyembe najjo giri ku buseere naye eri Ababanjari tebafaayo ku beeyi olw’obuwoomi omuyembe guno bwegulina.
Printed from neznama adresa